1 Chronicles 29:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo Omukama n'asukkulumya Solomoni mu maaso ga Yisirayeli yenna, n'amufuula kabaka ow'ekitiibwa ekingi, nga tewali kabaka wa Yisirayeli mu baamukulembera yali afunye kyenkana awo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isirayiri yenna, era n’aweebwa ekitiibwa eky’obwakabaka ekyali kitaweebwanga kabaka mulala yenna mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isiraeri yenna era n'amuwa ekitiibwa eky'obwakabaka ekitalabwanga ku kabaka yenna eyamusooka mu Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aleetera Yisirayeli yonna okuwa Solomooni ekitiibwa eky'obwakabaka, ekitalabwanga ku kabaka yenna eyasooka mu Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isiraeri yenna n'amuwa ekitiibwa eky'obwakabaka ekitalabwanga ku kabaka yenna eyamusooka mu Isiraeri.