1 Chronicles 29:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yafiira ku bukadde obulungi, ng'agundidde mu myaka, n'obugagga n'ekitiibwa; Solomoni mutabani we n'amusikira ku bwa kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’afa ng’akaddiye nnyo, ng’ajjudde essanyu olw’emyaka gye yamala ku nsi, mu bugagga ne mu kitiibwa, era Sulemaani mutabani we n’amusikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'afa ng'akaddiye bulungi, ng'awangadde era nga agaggawadde, nga alina n'ekitiibwa. Sulemaani mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'afa ng'awagadde nnyo, akaddiye, ng'agaggawadde era nga waakitiibwa. Solomooni mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'afa ng'akaddiye bulungi, ng'ajjudde ennaku n'obugagga n'ekitiibwa. Sulemaani mutabani we n'afuga mu kifo kye.