1 Chronicles 29:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwongereza ku bino, olw'okwagala ennyo Ekiggwa kya Katonda wange, mpaddeyo ku bimu ku makula gange aga zaabu ne ffeeza bizimbe ekiggwa kya Katonda, nga tobaze byonna bye ntegese olw'ennyumba y'Ekitukuvu:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwongera kw’ebyo byonna, n’okwewaayo kwange olwa yeekaalu ya Katonda wange, mpaddeyo amawanika gange aga zaabu ne ffeeza ku lwa yeekaalu ya Katonda wange;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate kubanga ntadde okwagala kwange ku nnyumba ya Katonda wange, kubanga nnina obugagga bwange ku bwange obwa zaabu ne ffeeza, mbuwa ennyumba ya Katonda wange, okusukkiriza byonna bye ntegekedde ennyumba entukuvu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwongereza ku ebyo bye ntegekedde Essinzizo lya Katonda wange, mpaddeyo zaabu ne ffeeza nga nzigya ku bugagga obwange ku bwange, olw'okwagala kwe njagalamu Essinzizo lya Katonda wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)