1 Chronicles 29:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mw'osanga eby'obwakabaka bwe byonna n'obuzira bwe, n'ebyamutuukirira, ne ku Yisirayeli ne ku bwakabaka bw'ensi zonna endala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’eby’okufuga kwe, n’obuyinza bwe, n’ebyo byonna ebyamutuukako, ne ku Isirayiri, ne ku bwakabaka obulala obwali bumwetoolodde, byonna byawandiikibwa omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebiwandiiko ebyo biraga okufuga kwe kwonna n'amaanyi ge n'ebintu byonna ebyamutuukako n'ebyatuuka ku Isiraeri, n'amatwale gonna ag'ensi ezeetooloddewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyawandiikibwa ebyo biraga obufuzi bwe bwonna nga bwe bwali, n'amaanyi ge yalina, n'ebintu byonna ebyamutuukako n'ebyatuuka ku Yisirayeli, ne ku bwakabaka bwonna obw'ensi ezeetooloddewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era n'okufuga kwe kwonna n'amaanyi ge n'ebiro ebyamuyitako ye ne Isiraeri n'amatwale gonna ag'ensi ezo.