1 Chronicles 29:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ku lwa byonna ebyetaagisa zaabu ne ku lwa byonna ebyetaagisa ffeeza, eby'omulimu gwonna baffundi gwe banaakola. Ani yeewaddeyo kyeyagalire okwewongera Omukama olwa leero?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’olw’omulimu ogwa zaabu n’ogwa ffeeza, n’omulimu gwonna ogunaakolebwa abafundi. Kale ani aneewaayo okwewonga leero eri Mukama?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'okukolamu ebintu byonna ebya zaabu, n'ebya ffeeza, abafundi bye balikola. Kale kaakano ani omulala awaayo ku bubwe okwewonga leero eri Mukama?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'okukolamu ebintu byonna ebya zaabu n'ebya ffeeza, abafundi bye balikola. Kale kaakano omulala ani eyeevuddemu ku lulwe okubaako by'awongera Mukama?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
zaabu ya bintu ebya zaabu, ne ffeeza ya bintu ebya ffeeza, n'olw'emirimu egy'engeri zonna egirikolebwa n'emikono gy'abafundi. Kale ani awaayo ku bubwe okwewonga leero eri Mukama?