1 Chronicles 29:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli yenna eyalina amayinja ag'omuwendo yagawaayo mu nkuluze y'Ekiggwa ky'Omukama, ne gakwasibwa Yakiyeli Omugerusoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abaalina amayinja ag’omuwendo, baagawaayo eri eggwanika lya yeekaalu ya Mukama, eyakuumibwanga Yekyeri Omugerusoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo abaalabika nga balina amayinja ag'omuwendo omungi ne bagawaayo mu ggwanika ery'Ennyumba ya Mukama eryali lirabirirwa Yekyeri Omugerusoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abo abaalina amayinja ag'omuwendo ennyo, ne bagawaayo mu ggwanika ly'Essinzizo eryali lirabirirwa Yehiyeeli Omuleevi asibuka mu Gerusooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abaalabika nga balina amayinja ag'omuwendo omungi ne bagawa eri obugagga obw'omu nnyumba ya Mukama wansi w'omukono gwa Yekyeri Omugerusoni.