1 Chronicles 29:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne basanyuka olw'okulaba abakulembeze baabwe nga bwe bawaayo kyeyagalire, kubanga ebyo baali babiweerezza Omukama kyeyagalire, n'omutima ogwemalizza; ne kabaka Dawudi yennyini n'asanyuka bya kitalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ne basanyukira nnyo okwewaayo abakulembeze baabwe kwe beewaayo, kubanga baawaayo n’omutima ogutuukiridde eri Mukama. Ne kabaka Dawudi n’asanyuka nnyo nnyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna ne basanyuka kubanga baawaayo ku byabwe, eri Mukama, nga beeyagalidde n'omutima ogutuukiridde; era ne Dawudi kabaka n'asanyuka nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne basanyuka, kubanga abakulembeze baabwe baawaayo ku byabwe eri Mukama mu mutima omulungi, nga beeyagalidde. Kabaka Dawudi naye n'asanyuka nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu ne basanyuka kubanga baawaayo ku bwabwe, kubanga baawaayo ku bwabwe eri Mukama n'omutima ogutuukiridde: era ne Dawudi kabaka n'asanyuka essanyu ddene.