1 Chronicles 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano be batabani ba Dawudi abaamuzaalirwa mu Keburoni: Omuggulanda ye Amunoni owa Akinowamu ow'e Yezureeli; owookubiri ye Danyeli owa Abigayili ow'e Karumeli;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be baana Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni: Omuggulanda ye yali Amunoni gwe yazaala mu Akinoamu Omuyezuleeri; owookubiri ye yali Danyeri gwe yazaala mu Abbigayiri Omukalumeeri;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bano be baana ba Dawudi beyazaalira e Kebbulooni nga bwe baddiriŋŋana: Amunoni omubereberye, omwana wa Akinoamu Omuyezuleeri; Danyeri ow'okubiri, omwana wa Abbigayiri Omukalumeeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be baana ba Dawudi be yazaala ng'ali e Heburooni: Amunooni omuggulanda, nnyina ye Ahinowamu Omuyezireeli; owookubiri Daniyeli, nnyina ye Abigayili Omukarumeeli;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bano be baali batabani ba Dawudi, abaamuzaalirwa e Kebbulooni: omubereberye Amunoni, omwana wa Akinoamu Omuyezuleeri; ow'okubiri Danyeri, omwana wa Abbigayiri Omukalumeeri;