1 Chronicles 3:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Newariya: Eliyowenayi, Kizukiya ne Azurikamu; be basatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Neyaliya baali Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu, be baana basatu bonna awamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Neyaliya baali basatu: Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Neyariya baali basatu: Eliyowenayi, ne Heezeekiya, ne Azirikaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba Neyaliya; Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu, basatu.