1 Chronicles 3:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano omukaaga baazaalirwa Dawudi mu Keburoni gye yafugira nga kabaka emyaka musanvu n'emyezi mukaaga. Dawudi yafugira mu Yeruzaalemu emyaka asatu mu esatu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano omukaaga Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni, gye yafugira emyaka musanvu n’emyezi mukaaga. Dawudi yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu esatu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Be baana mukaaga beyazaalira e Kebbulooni; gye yafugira emyaka musanvu ne myezi mukaaga. Era yafugira e Yerusaalemi emyaka asatu mu esatu (33).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo omukaaga yabazaala ali Heburooni. N'afugira eyo emyaka musanvu n'emyezi mukaaga. Yafugira mu Yerusaalemu emyaka amakumi asatu mu esatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yazaalirwa abaana mukaaga e Kebbulooni; era yafugira eyo emyaka musanvu ko emyezi mukaaga: ne mu Yerusaalemi n'afugira emyaka amakumi asatu mu esatu.