1 Chronicles 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yabezi yakowoola Katonda wa Yisirayeli nti: “Ayi, nkwegayiridde mpa omukisa! Gaziya ensi yange. Omukono gwo gumbeereko; ntaasa obubenje, omponye okulumwa.” Katonda n'amuwa kye yasaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yabezi n’akoowoola Katonda wa Isirayiri ng’agamba nti, “Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa mu mutima.” Katonda n’addamu okusaba kwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yabezi neyegayiriranga Katonda wa Isiraeri ng'asaba nti Singa ompeeredde ddala omukisa, n'ogaziya ensalo yange, n'ombeeranga n'onkuuma, buli kabi kaleme nga okuntukako! Awo Katonda n'amuwa kye yasaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yabezi ne yeegayirira Katonda wa Yisirayeli nti: “Singa nno ompa omukisa ayi Katonda, n'ogaziya amatwale gange, n'obeeranga nange, n'omponya buli kabi, kalemenga kuntuukako.” Awo Katonda n'amuwa kye yasaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yabezi n'akaabiriranga Katonda wa Isiraeri, ng'ayogera nti Singa ompeeredde ddala omukisa, n'ogaziya ensalo yange, era oba nga omukono gwo gunaabanga nange n'onkuuma obutalaba bubi, buleme okunnumya omwoyo! Katonda n'amuwa kye yasaba.