1 Chronicles 4:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Esutoni yazaala Beti-Rafa ne Pasewa. Tekinna yali kitaawe wa Yiri-Nakasi. Bano be basajja b'e Rekabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Esutoni n’azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina eyali omukulembeze wa Irunakasi. Bano be basajja ab’e Leka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Esutoni n'azaala Besulafa, ne Paseya, Tekina n'azaala Irunakasi. Abasibuka mwabo be batuuze be Leka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'azaala Betiraafa ne Pesewa, ne Tehinna eyazaala Yirinahaasi. Abasibuka mu abo be batuuze b'e Reeka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Esutoni n'azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina kitaawe wa Irunakasi. Abo be basajja ab'e Leka.