1 Chronicles 4:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mewonotayi yazaala Ofura; Seraaya yazaala Yowabu kitaawe wa Ge-Karasimu kubanga baali bakugu mu mirimu gy'emikono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Myonosaayi n’azaala Ofula. Ate Seraya n’azaala Yowaabu, ne Yowaabu ye yali jjajja wa Gekalasimu abaalinga abaweesi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Myonosaayi n'azaala Ofula: Seraya n'azaala Yowaabu kitaawe wa Gekalasimu; Yowaabu oyo yasibukamu bafundi ab'omu kiwonvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne Mewonotaayi eyazaala Ofura. Seraya yazaala Yowaabu eyasibukamu ab'omu Kiwonvu ekiyitibwa eky'Abafundi, kubanga abatuuze baamu baali bafundi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Myonosaayi n'azaala Ofula: Seraya n'azaala Yowaabu kitaawe wa Gekalasimu; kubanga baali bafundi.