1 Chronicles 4:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Ezura: Yeteri, Meredi, Eferi ne Yaloni. Yazaala Miriyamu, Sammayi ne Yisuba kitaawe wa Esutemowa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Ezula baali Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni. Omu ku bakyala ba Meredi ye yali Bisiya muwala wa Falaawo, era n’amuzaalira Miryamu, ne Sammayi, ne Isuba eyazaala Esutemoa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Ezula: Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni. Meredi yawasa Bisiya muwala w'e Misiri, ne bazaala omuwala Miryamu n'abalenzi babiri: Sammayi ne Isuba. Isiba oyo ye kitaawe wa Esutemoa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Ezera: Yeteri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yalooni. Meredi yawasa Bitiya muwala wa kabaka w'e Misiri, ne bazaala omuwala Miriyamu n'abalenzi babiri: Sammayi ne Yisiba. Yisiba oyo ye kitaawe wa Esitemowa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba Ezula; Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni: oyo n’azaala Miryamu ne Sammayi, ne Isuba kitaawe wa Esutemoa.