1 Chronicles 4:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukazi we Omuyudaaya yazaala Yaredi kitaawe wa Gedori, Keberi kitaawe wa Soko, Yekutyeli kitaawe wa Zanowa. Bano be batabani ba Bitiya muwala wa Faraawo eyali afumbiddwa Meredi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo be baana ba muwala wa Falaawo Bisiya, Meredi gwe yali awasizza. Omukyala we Omuyudaaya yamuzaalira Yeredi kitaawe wa Gedoli, ne Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Meredi yawasa n'omukazi Omuyudaaya, ne bazaala abalenzi basatu: Yeredi kitaawe wa Gedoli, Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanowa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Meredi yawasa n'omukazi Omuyudaaya, ne bazaala abalenzi basatu: Yeredi kitaawe wa Gedori, Heberi kitaawe wa Soko, ne Yekutiyeeli kitaawe wa Zanowa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mukazi we Omuyudaaya n'azaala Yeredi kitaawe wa Gedoli, ne Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanowa. Awo abo be batabani ba Bisiya muwala wa Falaawo, Meredi gwe yawasa.