1 Chronicles 4:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba muka Odiya mwannyina Nakamu: kitaawe wa Keyila Omugaruma, ne Esutemowa Omumaakati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kodiya n’azaala abaana mu mwannyina wa Nakamu era be baali ekika kya Keyira Omugalumi ne Esutemoa Omumaakasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kodiya yawasa mwannyina Nakamu. Batabani ba muka Kodiya oyo be basibukamu Keyira Omugalumi ne Esutemoa ow'e Maakasi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hodiya yawasa mwannyina Nahamu. Batabani ba muka Hodiya oyo be basibukamu Keyila Omugarumi ne Esitemowa ow'e Maakati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba muka Kodiya mwannyina Nakamu ye kitaawe wa Keyira Omugaluni, ne Esutemoa Omumaakasi.