1 Chronicles 4:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Sela mutabani wa Yuda: Eri kitaawe wa Leka; Laada kitaawe wa Maresa, n'amasiga g'abalusi b'obufumbo ab'e Beti-Asubewa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Seera mutabani wa Yuda baali Eri eyazaala Leka, kitaawe wa Malesa, ate era jjajja w’ebika by’abo abaalukanga linena e Besiyasubeya,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Seera mutabani Yuda, yazaala Eri: Eri yazaala Leka ne Laada n'azaala Malesa n'ab'olulyo lwabo abaalukanga bafuta ennungi ab'ennyumba ya Asubeya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Seela mutabani wa Yuda: Eri kitaawe wa Leeka, ne Laada kitaawe wa Maresa, n'ab'olulyo lw'abo abaalukanga engoye, ab'ennyumba ya Asibeeya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani ba Seera mutabani wa Yuda; Eri kitaawe wa Leka, ne Laada kitaawe wa Malesa, n'ebika eby'ennyumba yaabo abaaluka bafuta ennungi, eby'ennyumba ya Asubeya;