1 Chronicles 4:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yokimu n'abasajja b'e Kozeba, ne Yowasi, ne Sarafu eyafuga mu Mowabu, ne Yasubi-Lekemu (Bino bivudde mu biwandiiko eby'edda).
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yokimu ye yali jjajja w’abasajja ab’e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga Mowaabu ne Yasubirekemu. (Ebigambo bino bya mu biseera bya dda).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yokimu n'abatuuze ab'e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga mu Mowaabu ne Yasubirekemu. Ebyo byabaawo dda nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne Yokimu n'abatuuze b'e Kozeba, ne Yowaasi, ne Saraafu abaafuganga mu Mowaabu ne Yasubilehemu. Ebyo byabaawo dda nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Yokimu, n'abasajja ab'e Kozeba, ne Yowaasi, ne Salafu, abaafuganga mu Mowaabu, ne Yasubirekemu. Era ebigambo ebyo bya dda.