1 Chronicles 4:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baalinga babumbi nga babeera ne kabaka e Netayimu ne Gedera ku mirimu gye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo be baali ababumbi b’ensuwa abaabeeranga e Netayimu n’e Gedera, era baabeeranga mu lubiri lwa kabaka nga bamukolera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu abo baali babumbi abakolera kabaka era nga babeera mu Netayimu ne mu Gedera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abo baali babumbi abakolera kabaka era nga babeera mu Netayiimu ne mu Gedera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo be baali abajoona, era abaatuula mu Netayimu ne mu Gedera: eyo gye baabeeranga ne kabaka olw'omulimu gwe.