1 Chronicles 4:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Simeyi yalina abaana abalenzi kkumi na mukaaga n'abawala mukaaga, naye baganda be tebaalina baana bangi, bwe kityo ekika kyonna kyali tekyaze nga bwe gwali ku bazzukulu ba Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Simeeyi yalina abaana aboobulenzi kumi na mukaaga n’aboobuwala mukaaga, naye baganda be tebalina baana bangi, ekika kyabwe kyekyava tekyala nnyo ng’ekya Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Simeeyi n'azaala abaana ab'obulenzi kkumi na mukaaga (16) n'ab'obuwala mukaaga; naye baganda be tebaazaala baana bangi, so n'ekika kyabwe kyonna tekyayala okwenkana abaana ba Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Simeeyi yazaala abaana ab'obulenzi kkumi na mukaaga, n'ab'obuwala mukaaga. Kyokka baganda be tebaazaala baana bangi era Ekika kyabwe tekyayala ng'ekya Yuda bwe kyayala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Simeeyi n'azaala abaana ab'obulenzi kkumi na mukaaga n'ab'obuwala mukaaga; naye baganda be tebaazaala baana bangi, so n'ekika kyabwe kyonna tekyayala okwenkana abaana ba Yuda.