1 Chronicles 4:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano amannya gaabwe agawandiikiddwa ku lukalala olwo be baali abakulu b'amasiga gaabwe. Ennyumba za bajjajjaabwe zaayala mu bungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo aboogeddwako baali bakulu ba bika byabwe. Ennyumba zaabwe ne zeeyongera nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abamenyeddwa amannya baabanga bakulu mu bika byabwe: n'ennyumba za bajjajjaabwe ne zeyongera nnyo okwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abamenyeddwa amannya, baali bakulu ba nnyiriri zaabwe era olulyo lwabwe lweyongera okwala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abo abaatuddwa amannya gaabwe baabanga bakulu mu bika byabwe: n'ennyumba za bajjajjaabwe ne zeeyongeranga nnyo.