1 Chronicles 4:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagguka ku ttale eggimu, eddungi ennyo, aweetadde, awasiriikirivu. Abamu ku Bakaami baali babaddeko wano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baalaba omuddo omugimu omulungi, n’ensi yali ngazi, ng’erimu emirembe era nga nteefu. Bazzukulu ba Kaamu be baaberangamu edda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne balaba omuddo omugimu omulungi, ensi yali ngazi era ng'eteredde mirembe; abatuuze baamu abaasooka bali basibuka mu Kaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne balaba awali omuddo omugimu omulungi mu nsi engazi entebenkevu era ey'emirembe. Abatuuze baamu abaasooka baali basibuka mu Haamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balaba omuddo omugimu omulungi, era ensi yali ngazi era ng'eteredde era nga mirembe; kubanga abaabeeranga omwo olubereberye baali ba Kaamu.