1 Chronicles 4:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo amannya gaabwe agawandiikiddwa bajja mu mirembe gya Kezekiya kabaka wa Yuda. Baalumba weema z'Abakaami n'Abamewuni abaali basangiddwayo ne babasaanyizaawo ddala n'okutuusa ku lunaku lwa leero, ne basenga bali we baali, kubanga eyo waaliyo amalundiro olw'amagana gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja abo aboogeddwako baaliwo mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, era baalumba eweema za bazzukulu ba Kaamu n’Abamewuni abaabeeranga omwo ne babazikiririza ddala, obutalekaawo muntu n’omu wadde ekintu kyonna. Ne babeeranga omwo kubanga waaliyo omuddo ogw’okuwa ebisibo byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu bufuzi bwa kabaka Keezeekiya owa Yuda, abo abamenyeddwa amannya baalumba eweema n'ensiisira z'abatuuze baayo n'ez'Abamewuni be baasangayo ne babasaanyizaawo ddala, ne basengayo mu kifo kyabwe, kubanga waaliyo omuddo ogw'okuliisa amagana gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mulembe gwa Kabaka Heezeekiya owa Buyudaaya, abo abamenyeddwa amannya baalumba eweema n'ensiisira z'abatuuze baayo n'ez'Abamewuni be baasangayo ne babasaanyizaawo ddala, ne basengayo mu kifo kyabwe, kubanga waaliyo omuddo ogw'okuliisa amagana gaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abo abawandiikiddwa amannya gaabwe bajja ku mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, ne balumba eweema zaabwe, n'Abamewuni abaalabikayo, ne babazikiririza ddala, ne leero, ne babeera mu kifo kyabwe: kubanga ng'eriyo omuddo ogw'ebisibo byabwe.