1 Chronicles 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yabezi yali wa kitiibwa okukira baganda be. Nnyina yamutuuma Yabezi ng'agamba nti: “Mmuzadde mu bulumi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yabezi yali wa kitiibwa okusinga baganda be, ne nnyina n’amutuuma erinnya Yabezi amakulu nti, “Namuzaalira mu bulumi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yabezi yali wa kitiibwa kinene okusinga baganda be: nnyina kyeyava amutuuma erinnya eryo kubanga yamuluma nnyo ng'amuzaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo omusajja erinnya lye Yabezi eyali oweekitiibwa okusinga baganda be. Nnyina yamutuuma erya Yabezi, kubanga yamuluma nnyo ng'amuzaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yabezi n'aba n'ekitiibwa okukira baganda be: nnyina n'amutuuma erinnya Yabezi, ng'ayogera nti Kubanga namuzaala lwa buyinike.