1 Chronicles 5:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mirembe gya Sawulo baalwana n'Abawaguri ne babalinnyako n'amaanyi gaabwe, ne babeera mu weema zaabwe mu kitundu ekyo kyonna ekitunuulidde obuvanjuba bwa Gileyaadi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku mirembe gya Sawulo ne balumba Abakaguli, era Abakaguli ne bagwa mu mikono gyabwe, era bali ne beegazaanyiza mu nsi y’Abakaguli okutuukira ddala ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Gireyaadi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mulembe gwa Sawulo, Abalewubeeni ne balwanyisa Abakaguli mu lutalo, ne babatta, ne babeeranga mu weema zaabwe mu kitundu kyonna ekiri ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Gireyaadi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mulembe gwa Kabaka Sawulo, Abarewubeeni ne balwanyisa Abahagari mu lutalo, ne babatta, ne babeeranga mu weema zaabwe mu kitundu kyonna ekiri ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Gileyaadi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku mirembe gya Sawulo ne balwana n’abakaguli, ne battibwa n'omukono gwabwe ne babeeranga mu weema zaabwe okubuna ensi yonna eri ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Gireyaadi.