1 Chronicles 5:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ba Gaadi baali babaliraanye mu kitundu kyabwe gye baabeeranga, mu Basani n'okutuuka e Saleka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bazzukulu ba Gaadi baabeeranga okuliraana Basani okwolekera Saleka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'ekika kya Gaadi, baasenga e bukiikakkono bw'Abalewubeeni mu Basani, okutuukira ddala e Saleka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'Ekika kya Gaadi, baasenga ebukiikakkono bw'Abarewubeeni mu Basani, okutuukira ddala e Saleka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo batabani ba Gaadi ne babeeranga okuboolekera mu nsi y'e Basani okutuusa ku Saleka: