1 Chronicles 5:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baabeeranga mu Gileyaadi, mu Basani ne mu byalo byayo, ne mu malundiro wonna mu Saroni okutuuka ku nsalo zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baabeeranga mu Gireyaadi, mu Basani, ne mu bibuga byayo ebirala ne mu malundiro g’e Saloni okutuuka ku nsalo yaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne babeeranga mu Gireyaadi mu Basani, ne mu bibuga byako, ne mu byalo byonna ebiriraanye Saloni, okutuuka ku nsalo zaabyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abagaadi ne babeeranga mu Gileyaadi ne Basani, ne mu bibuga byayo byonna, ne mu bitundu eby'amalundiro eby'e Saroni okutuukira ddala gye bikoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne babeeranga mu Gireyaadi mu Basani, ne mu bibuga byako, ne mu byaIo byonna ebiriraanye Saloni, okutuuka ku nsalo zaabyo.