1 Chronicles 5:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ba Rubeni, abantu ba Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse baalina abasajja emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga abeesobola, omwali abakwata engabo, ab'ebitala, abalasa obusaale n'abatendeke mu by'entalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase baalina abasajja emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, ab’amaanyi era nga bazira mu kukwata engabo, ekitala, ne mu kukozesa obusaale, era nga batendeke mu kulwana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Lewubeeni, n'aba Gaadi, n'ekitundu ky'ekika kya Manase, eky'abasajja abazira, abasajja abaayinza okukwata engabo n'ekitala, n'okulasa n'emitego, era ab'amagezi okulwana, baali emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga (44,760), abaayinza okutabaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekika kya Rewubeeni n'ekya Gaadi, n'ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse, byonna awamu byalina abaserikale emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, abasajja abazira era abamanyirivu mu kukozesa engabo, n'ebitala n'obusaale, era abatendeke obulungi mu kulwana entalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani ba Lewubeeni, n'aba Gaadi, n'ekitundu ky'ekika kya Manase, eky'abasajja abazira, abasajja abaayinza okukwata engabo n'ekitala, n'okulasa n'emitego, era ab'amagezi okulwana, baali obukumi buna mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, abaayinza okutabaala.