1 Chronicles 5:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde Yuda kwo okuba yali muzira okukira baganda be, era nga mu ssiga lye omukulu mw'asibuka, kyokka obukulu bw'obuggulanda bwali bwa Yozefu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yuda yali w’amaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava kabaka ow’eggwanga lya Isirayiri, wabula ebyobusika eby’obuggulanda byali bya mutabani wa Yusufu omukulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde eky'okuba omubereberye kyali kya Yusufu, kyokka Yuda ye yafuuka ow'amaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava omukulembeze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde eky'okuba omuggulanda kyali kya Yosefu, kyokka Yuda ye yafuuka ow'amaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava omukulembeze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Yuda yasinga baganda be, era mu ye mwe mwava omulangira; naye eby'okuzaalibwa okw'olubereberye byali bya Yusufu:)