1 Chronicles 5:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baayambibwa mu kulwanyisa Abaaguri, Katonda n'awaayo Abawaguri mu mikono gyabwe na bonna abaali babalwanirako, kubanga baalaajanira Katonda nga balwana. Yawulira okwegayirira kwabwe kubanga baamwesiga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okwesiga n’okusaba Katonda okubabeera, baawangula Abakaguli mu lutalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Beesiga Mukama ne bamusaba abayambe era n'abayamba, Abakaguli ne bawangulwa wamu ne bonna abaali nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Beesiga Mukama ne bamusaba abayambe era n'abayamba, Abahagari ne bawangulwa wamu ne bonna be baali nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bayambwa nga balwana nabo, Abakaguli ne bagabulwa mu mukono gwabwe ne bonna abaali nabo: kubanga baakaabirira Katonda mu lutalo, n'akkiriza okwegayirira kwabwe; kubanga baamwesiga.