1 Chronicles 5:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bangi battibwa, kubanga olutalo lwali lwa Mukama. Badda mu bitundu bali mwe babadde okutuuka ku kuwaŋŋangusibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bangi ku bo battibwa kubanga olutalo lwali lwa Katonda. Ne basenga eyo okutuusa lwe baawaŋŋangusibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era batta bangi, kubanga Katonda ye yalwana olutalo olwo. Ne beefuga ebitundu ebyo okutuusa lwe bawaŋŋangusibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era batta bangi, kubanga Katonda ye yalwana olutalo olwo. Ne beefuga ebitundu ebyo okutuusa lwe baawaŋŋangusibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bangi abaagwa nga battiddwa kubanga olutalo lwava eri Katonda. Ne babeeranga mu kifo kyabwe okutuuka ku kutwalibwa.