1 Chronicles 5:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'omu kitundu eky'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse baali bangi; baalya ensi okuva ku Basani okutuuka ku Baali-Kerumoni, kwe kugamba Seniri oba Kerumoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ab’ekitundu ky’ekika kya Manase baali bangi nnyo, era baasenga mu nsi eya Basani okutuuka ku Baalukerumooni, ne Seniri, ne ku lusozi Kerumooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitundu eky'ekika kya Manase ekyabeeranga obuvanjuba ne beeyongera obungi, ne babeeranga mu kitundu ky'ensi eyo okuva ku Basani okutuuka ku Baalukerumooni ne Seniri n'olusozi Kerumooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'Ekimu ekyokubiri eky'Abamanasse ne beeyongera obungi, ne babeeranga mu kitundu ky'ensi eyo okuva e Basani okutuuka e Baali Herumooni ne Seniri ne ku Lusozi Herumooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana b'ekitundu ky'ekika kya Manase ne babeeranga mu nsi: ne bayala okuva ku Basani ne batuuka ku Baalukerumooni ne Seniri n'olusozi Kerumooni.