1 Chronicles 5:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye tebaali beesigwa eri Katonda wa bajjajjaabwe, ne bakola obwamalaaya ne balubaale b'abantu b'ensi eyo, Katonda be yali azikirizza mu maaso gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne bakola ebibi ebimenya ebiragiro bya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bagoberera bakatonda baamawanga ag’omu nsi eyo, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne basobya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bamuvaako ne basinza bakatonda b'amawanga ag'omu nsi omwo, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu ne bataba beesigwa eri Katonda wa bajjajjaabwe, ne bamuvaako ne basinzanga balubaale b'abannansi Katonda be yagoba mu nsi omwo nga bo Abayisirayeli batuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne basobya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bagenda nga benda okugoberera bakatonda b'amawanga ag'omu nsi, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe.