1 Chronicles 5:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda wa Yisirayeli n'asiikuula omwoyo gwa Pulu kabaka wa Assuri, kwe kugamba omwoyo gwa Tigulati-Piluneseri kabaka wa Assuri, n'awaŋŋangusa Rubeni ne Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse, n'abatwala e Kala, Kabori, Ara ne ku mugga Gozani, gye bakyali n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda wa Isirayiri kyeyava akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w’e Bwasuli, eyayitibwanga Tirugazupiruneseri, n’alumba Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ekyali kisigaddewo ku Manase, n’abawamba era n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Kala, n’e Kaboli, n’e Kaala ne ku mugga Gozani, gye bali n’okutuusa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda wa Isiraeri n'atabangula Puli kabaka w'e Bwasuli era ye Tirugasupiruneseri, n'abalumba, n'aggyayo ekika kya Lewubeeni, n'ekya Gaadi n'ekitundu ku kika kya Manase n'abatwala e Kala ne Kaboli, ne Kaala, n'eri omugga Gozani, ne leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Katonda w'Abayisirayeli n'akubiriza Puuli kabaka wa Assiriya erinnya lye eddala ye Tilugati Piluneseri, okutwala mu buwaŋŋanguse Abarewubeeni, n'Abagaadi, n'ekimu ekyokubiri eky'Abamanasse. Kabaka oyo n'abatwala e Hala, n'e Habori, n'e Haara, ne ku Mugga Gozani, ne babeerera ddala eyo n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Katonda wa Isiraeri n'akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w'e Bwasuli n'omwoyo gwa Tirugasupiruneseri kabaka w’e Bwasuli, n'abatwala n'abaggyayo, Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika kya Manase n'abaleeta e Kala ne Kaboli, ne Kaala, n'eri omugga Gozani, ne leero.