1 Chronicles 5:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ku ludda lw'ebuvanjuba baabeeranga mu kitundu okutuuka w'oyingirira mu ddungu, eno gye likwatira ku mugga Furaati; kubanga amagana gaabwe gaali gayaze mu nsi ya Gileyaadi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate baasenga n’ebuvanjuba w’eddungu okutuukira ddala ku mugga Fulaati, kubanga amagana gaabwe gaali gaaze nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebuvanjuba baali mu kitundu awatandikira eddungu, okutuukira ddala ku mugga Fulaati, kubanga amagana gaabwe gaali mangi mu nsi y'e Gireyaadi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebuvanjuba baali mu kitundu awatandikira eddungu, okutuukira ddala ku Mugga Ewufuraate, kubanga amagana gaabwe gaali mangi mu nsi y'e Gileyaadi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ebuvanjuba yabeeranga okutuuka awayingirirwa mu ddungu okuva ku mugga Fulaati: kubanga ebisibo byabwe nga byeyongedde mu nsi ya Gireyaadi.