1 Chronicles 6:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Simewa mutabani we, Kaggiya mutabani we, ne Asaaya mutabani we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekozadaki yatwalibwa mu buwaŋŋanguse Mukama bwe yawaayo Yuda ne Yerusaalemi mu mukono gwa Nebukadduneeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekozadaki n'atwalibwa nga musibe, Mukama bwe yatwalira ddala Yuda ne Yerusaalemi n'omukono gwa Nebukadduneeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehozadaaki oyo yawaŋŋangusibwa, Mukama bwe yatwala ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu mu busibe ng'akozesa Nebukadunezzari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekozadaki n'atwalibwa nga musibe, Mukama bwe yatwalira ddala Yuda ne Yerusaalemi n'omukono gwa Nebukadduneeza.