1 Chronicles 6:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano be basajja abaweerezanga wamu be batabani baabwe: Okuva mu ssiga kya Kewati: Emani omuyimbi mutabani wa Yoweli, mutabani wa Semweli;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Kokasi baali Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Kokasi be bano; Amulaamu ne Izukali ne Kebbulooni ne Wuziyeeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Kohati: Amuraamu, ne Yizihaari, ne Heburooni, ne Wuzziyeeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba Kokasi ye Amulaamu ne Izukali ne Kebulooni ne Wuziyeeri.