1 Chronicles 6:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mutabani wa Elukana, mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Eliyeli, mutabani wa Towa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi. Gino gy’emituba egy’Abaleevi okutandika ne bajjajja baabwe:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Merali ye; Makuli ne Musi. Olwo lwe lulyo lwa ba Leevi nga bajjajjaabwe bwe baddiriŋŋana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani ba Merari: Mahuli ne Musi. Olwo lwe lulyo lw'Abaleevi, nga bajjajjaabwe bwe baddiriŋŋana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani ba Merali; Makuli ne Musi. Era ebyo bye bika by'Abaleevi ng'enda za bajjajjaabwe bwe zaali.