1 Chronicles 6:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mutabani wa Amuzi, mutabani wa Bbani, mutabani wa Semeri,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira eby’ennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng’eteekeddwamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo abantu Kabaka Dawudi be yalonda okukulira eby'okuyimba mu Yeekaalu ye Yerusaalemi, essanduuko y'endagaano ya Mukama bwe yamala okuyingizibwa mu Yeekaalu eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo abantu Kabaka Dawudi be yalonda okukulira eby'okuyimba mu Ssinzizo ly'e Yerusaalemu, Essanduuko y'Endagaano ya Mukama bwe yamala okuyingizibwa mu Ssinzizo eryo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Dawudi be yafuula abakulu b'omulimu ogw'okutimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng'emaze okuwummula, be bano.