1 Chronicles 6:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mutabani wa Makuli, mutabani wa Musi, mutabani wa Merari, mutabani wa Leevi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baaweererezanga mu nnyimba mu maaso g’ekuŋŋaaniro ey’Eweema ey’Okusisikanirangamu, okutuusa Sulemaani lwe yazimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bakolanga emirimu gyabwe, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baweerezanga mu mpalo mu weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, nga bayimba, okutuusa kabaka Sulemaani bwe yamala okuzimba Yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baaweerezanga mu mpalo mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, nga bayimba, okutuusa Kabaka Solomooni bwe yamala okuzimba Essinzizo lya Mukama mu Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baweereza n'ennyimba mu maaso g'ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu okutuusa Sulemaani lwe yamala okuzimba ennyumba ya Mukama mu Yerusaalemi: ne beesibira omulimu gwabwe ng'ebisanja byabwe bwe byali.