1 Chronicles 6:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino bye bifo gye baasenga eby'ensiisira zaabwe ebyabaweebwa ku kalulu ng'ebitundu byabwe. Byasooka kuweebwa bazzukulu ba Aroni mu ssiga ly'Abakewati kubanga bo akalulu be kaayokya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era n’ab’enju ye baali bwe bati: Asafu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Simeeyi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munne wa Kemani era eyamuyimiriranga ku mukono ogwa ddyo, yali Asafu mutabani wa Berekiya, Berekiya mutabani wa Simeeya, Simeeya
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munne wa Hemani era eyamuyimiriranga ku mukono ogwa ddyo, yali Asafu mutabani wa Berekiya, Berekiya mutabani wa Simeeya, Simeeya
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne muganda we Asafu, eyayimiriranga ku mukono gwe ogwa ddyo, Asafu mutabani wa Berekiya, mutabani wa Simeeya;