1 Chronicles 6:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe batyo Abayisirayeli baawa Abaleevi ebibuga ebyo n'amalundiro gaabyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Alooni ne batabani be ne bazzukulu be, be baawangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky’okwoterezangako obubaane olw’ebyo byonna ebyakolebwanga mu Kifo ekisinga Obutukuvu, olw’okutangirira Isirayiri, nga Musa, omuddu wa Katonda bwe yalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Alooni n'abasibuka mu ye, ne bawangaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kyabyo era ne booterezanga obubaane, olw'omulimu gwonna ogw'omu kifo ekitukuvu ennyo, n'okutangiriranga Isiraeri, nga byonna bwe biri Musa omuddu wa Katonda bye yalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni n'abasibuka mu ye ne baweerangayo ku alutaari ebiweebwayo ebyokebwa, era ne booterezanga obubaane ku alutaari yaabwo. Ne bakolanga emirimu gyonna egy'omu Kifo Ekitukuvu, era ne basabiranga Abayisirayeli okusonyiyibwa ebibi byabwe, nga Musa omuweereza wa Katonda, bwe yalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Alooni ne batabani be, ne baweerangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky'okwoterezangako obubaane, olw'omulimu gwonna ogw'omu kifo ekitukuvu ennyo, n'okutangiriranga Isiraeri, nga byonna bwe biri Musa omuddu wa Katonda bye yalagira.