1 Chronicles 6:54 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayiyaloni n'amalundiro gaakyo, ne Gati-Rimmoni n'amalundiro gaakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino by’ebifo ebyabaweebwa okutuulamu ng’ensi yaabwe era bino bye byali biweereddwa bazzukulu ba Alooni Abakokasi, kubanga be baasooka okufuna omugabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bino bye bifo ab'olulyo lwa Alooni bye baweebwa okubeeramu. Akalulu kasooka kuggwa ku ba Kokasi, ne baweebwa ekitundu kyabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye bifo ab'olulyo lwa Arooni mwe baasenga. Abakohati akalulu be kaasooka okulonda ne baweebwa aw'okusenga mu kitundu ekyaweebwa Abaleevi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bino bye bifo byabwe eby'okubeeramu, ng'ensiisira zaabwe bwe zaali mu nsalo zaabwe: ne bawa batabani ba Alooni, ab'oku nda z'Abakokasi, kubanga abo akalulu be kaasooka okugwiira,