1 Chronicles 6:55 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kitundu ekyokubiri ekya Manasse Aneri n'amalundiro gaakyo ne Bilewamu n'amalundiro gaakyo byaweebwa abo abaali bafisse mu nnyiriri z'abazzukulu ba Kewati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baaweebwa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n’amalundiro agakyetoolodde,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne baweebwa Kebbulooni ekiri mu Yuda, n'amalundiro agakyetoolodde:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baaweebwa Heburooni eky'omu Buyudaaya, n'amalundiro agakyetoolodde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abo ne babawa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n'ebyalo byakyo ebikyetoolodde: