1 Chronicles 6:57 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva mu kika kya Yissakari baaweebwa: Kedesi n'amalundiro gaakyo, Daberati n'amalundiro gaakyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bazzukulu ba Alooni baaweebwa Kebbulooni, ekibuga eky’okwekwekamu, Libuna n’amalundiro gaakyo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abasibuka mu Alooni ne baweebwa ebibuga eby'okuddukiramu, Kebbulooni, Libuna n'amalundiro gaakyo, Yattiri ne Esutemoa n'amalundiro gaabyo
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era baawa abasibuka mu Arooni ebibuga eby'obuddukiro: Heburooni, ne Libuna, n'amalundiro gaabyo, ne Yattiri, ne Esitemowa n'amalundiro gaabyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba Alooni ne babawa ebibuga eby'okuddukiramu, Kebbulooni; era ne Libuna n'ebyalo byako, ne Yattiri, ne Esutemoa n'ebyalo byako;