1 Chronicles 6:61 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva mu kika kya Nafutali: Kedesi mu Galilaaya n'amalundiro gaakyo, Kammoni n'amalundiro gaakyo ne Kiriyatayimu n'amalundiro gaakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bazzukulu ba Kokasi abalala baweebwa ebibuga kkumi okuva ku nda ez’ekitundu ky’ekika kya Manase nga bakuba akalulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibuga kkumi mu kitundu kya Manase eky'ebugwanjuba byakubwako akalulu ne biweebwa Abakokasi abalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era akalulu bwe kaakubwa, Abahokati abalala ne baweebwa ebibuga kkumi, ebyali mu kitundu ky'ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba Kokasi abalala ne baweebwa n'obululu ebibuga kkumi ebyaggibwa ku nda y'ekika, ku kitundu ky'ekika, ekitundu kya Manase.