1 Chronicles 6:62 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Merari abaafikka baabawa okuva mu kika kya Zebuluni: Rimmoni n'amalundiro gaakyo, Tabori n'amalundiro gaakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bazzukulu ba Gerusoni, ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva ku bika bya Isakaali, Aseri, Nafutaali, n’okuva ku kika kya Manase mu Basani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batabani ba Gerusomu ng'enda zaabwe bwe zaali ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu (13), ebyaggibwa ku kika kya Isakaali ne ku kika kya Aseri ne ku kika kya Nafutaali ne ku kika kya Manase mu Basani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aba buli nnyumba ez'abasibuka mu Gerusoomu, nabo ne baweebwa ebibuga eby'okubeerangamu. Bonna awamu baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu ebyaggyibwa ku Kika kya Yissakaari, ne ku kya Aseri, ne ku kya Nafutaali, ne ku kya Manasse eky'omu Basani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba Gerusomu ng'enda zaabwe bwe zaali ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu, ebyaggibwa ku kika kya Isakaali ne ku kika kya Aseri ne ku kika kya Nafutaali ne ku kika kya Manase mu Basani.