1 Chronicles 6:63 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'emitala wa Yorudani okuva mu kika kya Rubeni, ebuvanjuba wa Yeriko, baaweebwa: Bezeri mu ddungu n'amalundiro gaakyo, Yawazi n'amalundiro gaakyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bazzukulu ba Merali ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva ku bika bya Lewubeeni, Gaadi ne Zebbulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Merali ne baweebwa n'obululu ng'enda zaabwe bwe zaali ebibuga kkumi na bibiri (12), ebyaggibwa ku kika kya Lewubeeni ne ku kika kya Gaadi ne ku kika kya Zebbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aba buli nnyumba ez'abasibuka mu Merari, ne baweebwa ebibuga eby'okubeerangamu. Bonna awamu baakubirwa akalulu ne baweebwa ebibuga kkumi na bibiri ebyaggyibwa ku Kika kya Rewubeeni, ne ku kya Gaadi, ne ku kya Zebbulooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani ba Merali ne baweebwa n'obululu ng'enda zaabwe bwe zaali ebibuga kkumi na bibiri, ebyaggibwa ku kika kya Lewubeeni ne ku kika kya Gaadi ne ku kika kya Zebbulooni.