1 Chronicles 6:65 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva mu kika kya Gaadi baaweebwa: Ramoti mu Gileyaadi n'amalundiro gaakyo, Makanayimu n'amalundiro gaakyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ebibuga okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini ebyogeddwako byabaweebwa nga bakuba akalulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibuga ebimenyeddwa amannya ebyaggyibwa ku b'ekika kya Yuda ne ku b'ekika kya Simyoni, ne ku b'ekika Benyamini byagabirwa Abaleevi nga bikubirwa kalulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibuga ebimenyeddwa amannya ebyaggyibwa ku b'Ekika kya Yuda ne ku b'Ekika kya Simyoni, ne ku b'Ekika kya Benyamiini byagabirwa Abaleevi nga bikubirwa kalulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bawa n'obululu ebibuga ebyaggibwa ku kika ky'abaana ba Yuda ne ku kika ky'abaana ba Simyoni ne ku kika ky'abaana ba Benyamini, biibino ebyatuddwa amannya gaabyo.