1 Chronicles 6:70 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase, Abayisirayiri ne babagabira Aneri ne Biryamu, wamu n’amalundiro byako eri enda ezaali zisigaddewo eza Kokasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ebyaggibwa ku kitundu ky'ekika kya Manase; Aneri n'amalundiro gakyo, Biryamu n'amalundiro gakyo, ne biweebwa abaana ba Kokasi abaali basigaddewo nga tebanafuna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate ebyaggyibwa ku kimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse: Aneri n'amalundiro gaakyo, ne Bileyaamu n'amalundiro gaakyo, ne biweebwa abasibuka mu Kohati abaali batannafuna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ebyaggibwa ku kitundu ky'ekika kya Manase; Aneri n'ebyalo byako, ne Biryamu n'ebyalo byako, okuba eby'abo abasigaddewo ku nda ya batabani ba Kokasi.